Jeremiah 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Yeruzaalemu balikiyita ‘Nnamulondo ya Katonda.’ Amawanga gonna galikuŋŋaanira mu Yeruzaalemu okugulumiza erinnya ly'Omukama. Tebaliddayo na kugoberera bukakanyavu bwa mutima gwabwe omubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi, so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo, Yerusaalemu aliyitibwa ‘Entebe ya Mukama,’ era ab'amawanga gonna balikuŋŋaanira eyo okunsinza Nze Mukama. Baliba tebakyakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi, bye gibagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n'amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi: so tebalitambula nate ng'obukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi bwe buli.