Jeremiah 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze kennyini nagamba nti: Wamma nnaakuteeka mu baana bange, ne nkuwa ensi eyeegombebwa, obusika obusinga obulungi mu mawanga. Nalowooza nti olimpita lya ‘Kitange’, nti tolirekera awo kungoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze kennyini nalowooza “nga nayagala okubayisanga nga batabani bange, era mbawe ensi eyeegombebwa, nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna. Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’ ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nnalowooza engeri gy'enkuteeka mu batabani bange, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu mawanga gonna. Era nnalowooza nti mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nalowooza okubabalira mu batabani bange, mbawe ensi esanyusa, esingira ddala obulungi mu mawanga gonna. Nayagala mumpitenga kitammwe, era mulemenga kunvaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne njogera nti Ndikuteeka ntya mu baana, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu ggye ly'amawanga? ne njogera nti Mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.