Jeremiah 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yimusa amaaso ku busozi obwereere olabe. Waliwo akafo w'otaganzikiddwa? Watuulanga ku makubo n'obalinda, nga Omuwarabu mu ddungu. Ensi wagyonoona n'obwamalaaya bwo, n'obugwagwa bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi. Waliwo ekifo we bateebakira naawe? Ku mabbali g’ekkubo we watulanga n’olinda abasajja ng’oli nga Omuwalabu mu ddungu; n’olyoka oyonoona ensi n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimusa amaaso go eri ensozi enjereere olabe; waliwo ekifo we batasulirangako naawe? Ku mabbali g'ekkubo, waatuulanga ng'olindirira baganzi bo, ng'Omuwalabu bw'ateega abantu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunuulira entikko z'ensozi enjereere olabe. Waliwo ekifo kye bateebakangamu naawe? Baganzi bo abo wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwarabu bw'ateega abantu mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimusa amaaso go eri ensozi ez'obweru olabe; we batasulira naawe wa? Wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwalabu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.