Jeremiah 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eddoboozi liwulirwa ku busozi obwereere, okukaaba n'okuwanjaga kw'abantu ba Yisirayeli, kubanga ekkubo lyabwe balyonoonye; beerabidde Omukama, Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri kuwuliddwa ku ntikko z’ensozi ezitaliiko kantu, nga bakaaba n’okwegayirira, kubanga baatambulira mu kukola ebibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi enjereere, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi by'Abayisirayeli liwuliddwa ku ntikko z'ensozi nga bakaaba era nga bawanjaga, kubanga beeyisa bubi ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi ez'obweru, okukaaba n'okwegayirira kw'abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe.