Jeremiah 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukomeewo mmwe abaana abajeemu; nzija kubawonya obujeemu bwammwe.” “ Tuutuno tuzze gy'oli, kubanga ggwe Mukama, Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.” Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukomewo, mmwe abaana abaseeseetuse, nange n'awonya okuseeseetuka kwammwe.” “Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mukomeewo mmwe mwenna abatabadde beesigwa, nja kubawonya mbafuule beesigwa.” Mmwe ne mugamba nti: “Weewaawo, tujja gy'oli, kubanga ggwe Mukama, Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukomeewo, mmwe abaana abaseeseetuse, naawonya okuseeseetuka kwammwe. Laba, tuzze gy'oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.