Jeremiah 3:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima, obusozi bwali bulimba n'oluyoogaano lw'oku nsozi. Mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokofu bwa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala temuli kantu. Ddala mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, n'oluyoogaano oluli ku nsozi teruliimu; mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala teri mugaso gusuubirwa kuva ku busozi, ne mu kuleekaanira ku nsozi. Ddala Mukama Katonda waffe ye anaayamba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, oluyoogaano oluli ku nsozi: mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri.