Jeremiah 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu buvubuka bwaffe, bya nsonyi bye byamira emirimu gya bajjajjaffe, endiga zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okuva mu buto bwaffe bakatonda abo abalala abatagasa balidde ne bamalawo ebibala bakitaffe bye baamalirako amaanyi gaabwe, embuzi zaabwe, n’ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okuviira ddala edda mu buto bwaffe, ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe, embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okuviira ddala edda, lubaale akwasa ensonyi, ye amazeewo byonna bajjajjaffe bye baateganira: amagana g'embuzi n'ag'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekyo ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe; embuzi zaabwe n'ente zaabwe, batabani baabwe n'abawala baabwe.