Jeremiah 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twebake mu nsonyi zaffe, obuswavu bwaffe butubikke, kubanga twasobya ew'Omukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe; okuviira ddala mu buvubuka bwaffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero, tetwawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde kubanga twonoonye eri Mukama Katonda waffe, ffe ne bakadde baffe, okuva mu buto bwaffe n’okutuusa ku lunaku luno; kubanga tetugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tugalamire nga ensonyi zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko; kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero, so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twevuunike nga tukwatiddwa ensonyi, okuswala kwaffe kutubikkeko. Ffe ne bajjajjaffe twakola ebibi eri Mukama Katonda waffe. Tetugonderanga biragiro bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tugalamire ensonyi nga zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko: kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero: so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.