Jeremiah 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
onoonyiiga ebbanga lyonna? Onoosunguwala mirembe gyonna?’ Bwe mutyo bwe mwogera, naye mwonoona nga bwe mwagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
onoonyiigira ddala emirembe gyonna, olisunguwala emirembe gyonna? Bw’otyo bw’oyogera, naye okoze ebibi byonna ebisoboka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onooguguba n'obusungu bwo emirembe gyonna?’ Oliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ononsunguwaliranga bulijjo? Olinsibira obusungu bwo ennaku zonna?’ Ekyo okyogera, naye n'osigala ng'okola ebibi byonna ebisoboka!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aliguguba n'obusungu bwe emirembe gyonna? aliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n'okola ebigambo ebibi, n'okwata ekkubo lyo ggwe.