Jeremiah 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mirembe gya kabaka Yosiya Omukama yagamba nti: “Olabye Yisirayeli omujeemu ky'akoze? Alaze ku buli kasozi akagulumivu na buli wansi wa muti oguggumizza n'akolerawo obwamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti, “Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? Alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya bwe yali nga ye kabaka, Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye Yisirayeli, omukazi atali mwesigwa, ky'akoze? Yanvaako, n'ayendera ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti omubisi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.