Jeremiah 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalowooza nti bw'anaamala okukola ebyo byonna, anadda gye ndi, naye teyakikola, ate muganda we Yuda ataali mwesigwa n'akiraba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, ‘Alinzirira;’ naye n'atadda; ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, alinzirira, kyokka n'atadda. Ne muganda we Buyudaaya ow'enkwe, n'akiraba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne njogera bwe yamala okukola ebyo byonna nti Alinzirira; naye n'atadda: ne mwannyina ow'enkwe Yuda n'akiraba.