Jeremiah 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawa Yisirayeli omujeemu ebbaluwa ey'obugobe ne mmugoba olw'obwenzi bwe. Kyokka nalaba nga muganda we Yuda ataali mwesigwa teyatyako n'akamu; yagenda bugenzi naye n'akola obwamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda yalaba nga olw'obwenzi bwa Isiraeri eyaseeseetuka, nnamugoba ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba, era naye mwannyina Yuda ow'enkwe n'atatya; naye era n'agenda ne yeefuula omwenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buyudaaya era yalaba nga nagoba Yisirayeli, ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'obwenzi bwe. Kyokka Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atatya, wabula n'agenda, naye ne yeefuula omwenzi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba, bwe nnamala okugoba Isiraeri eyaseeseetuka ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'ensonga eno kubanga ayenze, era naye Yuda ow'enkwe mwannyina n'atatya; naye era naye n'agenda ne yeefuula omwenzi.