Jeremiah 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga obwamalaaya bwe ku ye tekyali kantu, ensi yagyonoona, n'akola obwenzi n'amayinja n'emiti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda, yayonoona ensi, n'ayenda ku mayinja ne ku bikonge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
atakwatibwa na ku nsonyi. Bw'atyo n'ayonoona ensi, n'amenya obwesigwa, ng'asinza amayinja n'ebitittiriri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda ensi n'eyonooneka, n'ayenda ku mayinja n'ebikonge.