Jeremiah 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Awo nno, Yakobo omuweereza wange, leka kutya; Yisirayeli, totekemuka,’ Omukama y'agamba, ‘ŋŋenda kukununula mu nsi ey'ewala, n'ezzadde lyo ndiggye mu nsi gye lyasibirwa. Yakobo agenda kudda, atebenkere, abeere mu ddembe; tewaliba amukanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange, toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’ bw’ayogera Mukama. ‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala, nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse. Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu, era tewali n’omu alimutiisatiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale totya, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ayi Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, n'ezzadde lyo okuva mu nsi gye mwasibirwa; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alibeera mirembe, so tewaliba alimutiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mmwe abantu bange, abaweereza bange, temutya. Abayisirayeli, temweraliikirira. Ndibanunula, ne mbaggya mu nsi ey'ewala, mu nsi eyo gye mwasibirwa. Mulidda ewaabommwe, ne mubeera mu ddembe, nga tewali abatiisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale totya, ai Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; so tokeŋŋentererwa, ai Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi ey'obusibe bwabwe; awo Yakobo alikomawo, era alitereera, alyessa, so tewaliba alimutiisa.