Jeremiah 30:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ndi naawe okukuwonya,’ Omukama y'agamba, ‘ndisaanyizaawo ddala amawanga gonna, gye nakusaasaanyiza; wazira ggwe sirikusaanyizaawo ddala. Ndikubonereza ekisaanidde, kyokka sirikulekera awo nga sikubonerezza.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndi wamu nammwe era ndibalokola, wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde, siribazikiririza ddala mmwe,’ bw’ayogera Mukama. Ndibakangavvula n’obwenkanya, siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola; kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalirawo ddala, naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ndi wamu nammwe okubalokola. Ndizikiriza amawanga gonna, gye nabasaasaanyiza mmwe. Naye mmwe siribasaanyaawo. Siribaleka kubaginya, naye ndibabonereza ekisaanidde. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukulokola: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza, naye ggwe sirikumalira ddala: naye ndikubuulirira mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.