Jeremiah 30:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali wa kuwuliriza nsonga zo; ekiwundu kyo tekiriiko kuvumula; ku ggwe teri kuwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu wa kukuwolereza, tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali wa kukuwolereza, tewali ddagala ery'ekiwundu kyo, togenda kuwonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali anaabijjanjaba, tewali ddagala linaabagasa, tewali ssuubi lya kuwona!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali wa kukuwolereza, onyigibwe: tolina ddagala eriwonya.