Jeremiah 30:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali baganzi bo bonna bakwerabidde, tebakufaako. Nakukuba ng'omulabe bwe yandikukubye, ng'omukambwe bwe yandikubonerezza. Kubanga omusango gwo munene bulala, n'ebibi byo byayitirira obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakuyamba bonna bakwerabidde tebakufaako. Nkukubye ng’omulabe bwe yandikoze ne nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze, kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyo n’ebibi byo bingi ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakyakufaako; kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne ebibi byo byeyongedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganzi bammwe bonna babeerabidde, tebakyabafaako, kubanga mmwe mbalumbaganye ng'omulabe, mbabonerezza n'obukambwe olw'ebibi byammwe ebingi n'olw'emisango gyammwe eminene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baganzi bo bonna bakwerabidde; tebakunoonya: kubanga nkufumise ekiwundu eky'omulabe, okukangavvula okw'omukambwe; kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde.