Jeremiah 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki olaajana olw'ekiwundu kyo, olw'obulumi bwo obutali bwa kuwona? Olw'omusango omunene n'ebibi byo ebingi, kyennava nkukola ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo, obulumi bwo obutaliiko ddagala? Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyo nkuleeseeko ebintu bino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? Obulumi bwo tebuwonyezeka, kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, ne bibi byo byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwemulugunya olw'ebiwundu byammwe; obulumi bwammwe si bwa kuwona. Nababonereza bwe ntyo olw'ebibi byammwe ebingi, n'olw'emisango gyammwe eminene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okaabira ki olw'ekiwundu kyo? obulumi bwo tebuwonyezeka: kubanga obutali butuukirivu bwo bungi, kubanga ebibi byo byali byeyongedde, kyenvudde nkukola ebyo.