Jeremiah 30:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka abo bonna abaakukavvula, balikavvulibwa; n'abalabe bo bonna baliwaŋŋangusibwa, buli omu; abo abaakunyaga, balinyagibwa; na bonna abaakwaya, nabo baliyaayibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa, abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse. Abo abaakunyaga balinyagibwa, abo abaakwelula balyelulwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu busibe; n'abo abakunyaga, baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga, ndibagabula okuba omuyiggo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakati bonna abo ababakavvula mmwe, balikavvulwa. Abalabe bammwe bonna balitwalibwa mu busibe. Bonna ababanyigiriza mmwe, n'ababanyaga, balinyagibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna abakulya kyebaliva baliibwa; n'abalabe bo bonna buli omu ku bo baligenda mu kusibibwa; n'abo abakunyaga baliba munyago, n'abo bonna abakuyigga ndibagabula okuba omuyiggo.