Jeremiah 30:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndikuwonya ne nkuzzaawo, ndiwonya ekiwundu kyo,” Omukama y'agamba, “kubanga bakuyita ‘Omuboole, Siyoni, atalina amufaako’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndikuzzaawo owone, ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama, ‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa, Sayuuni atalina n’omu amufaako.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti, ‘Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atakyafaako!’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibongeramu mmwe obulamu, ndiwonya ebiwundu byammwe. Newaakubadde abalabe bammwe, bagamba nti: ‘Siyooni agobeddwa, tewakyali amufaako.’ Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ndikukomezaawo obulamu, era ndikuwonya ebiwundu byo, bw'ayogera Mukama; kubanga bakuyise eyagobebwa, nga boogera nti Ye Sayuuni omuntu yenna gw'atanoonya.