Jeremiah 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama kino ky'agamba: ‘Nzija kuzzaawo weema za Yakobo, ndiddiramu ebisulo bye. Ekibuga kirizzibwawo we kibadde entuumu, n'olubiri lulizzibwa mu kifo kyalwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu. Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo, n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndizzawo obulungi bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze, n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, era n'olubiri lulizzibwa we lwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndizzaayo abantu bange mu nsi yaabwe ne nkwatirwa ekisa buli maka. Yerusaalemu kirizimbibwa buggya, n'olubiri lwakyo lulizzibwawo we lwali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikyusa nate obusibe bw'eweema za Yakobo, era ndisaasira ennyumba ze; n'ekibuga kirizimbibwa ku kifunvu kyakyo, n'olubiri lulisigalawo ng'engeri yaalwo bw'eri.