Jeremiah 30:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bo mulivaamu ennyimba ez'ettendo, n'amaloboozi g'abajaguza. Ndibafuula bangi, tebalikendeera; ndibagulumiza, tebalinyoomebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza era n’eddoboozi ery’okujaguza, ndibaaza, era tebaliba batono, ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva mu bo muliva ennyimba ez'okwebaza, n'amaloboozi g'abo abasanyuka. Ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebalitoowazibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ababeeramu baliyimba ennyimba ez'okutendereza. Balireekaana olw'essanyu. Ndibawa omukisa, ne beeyongera obungi awatali kukendeera. Baliweebwa ekitiibwa awatali kutoowazibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu byo muliva okwebaza n'eddoboozi ly'abo abasanyuka: era ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebaliba bato.