Jeremiah 30:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkugambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti, Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkubuulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Wandiika mu kitabo, ebigambo byonna, bye nkubuulidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Weewandiikire mu kitabo ebigambo byonna bye nnaakakubuulira.