Jeremiah 30:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana baabwe baliba nga bwe gwalinga edda; n'ekibiina kyabwe kirikakata mu maaso gange; ndibonereza bonna ababatulugunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda, era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndizzaawo obuyinza bw'eggwanga lyabwe, ne mbunywereza ddala. Ndibonereza bonna ababanyigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abaana baabwe baliba nga bwe baali olubereberye, n'ekibiina kyabwe kirinywezebwa mu maaso gange, era ndibonereza bonna abalibajooga.