Jeremiah 30:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukungu waabwe aliva mu bo, alibafuga alisituka mu bo, nzija kumusembeza, naye alinsemberera. Anti ani alyewaayo okunsemberera?’ Omukama y'ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo; omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo. Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange, kubanga ani oyo alyewaayo okunyiikira okubeera okumpi nange?’ bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga, aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi, kubanga ani eyali ayaŋŋaanze okunsemberera? Bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo alibafuga, aliva mu ggwanga lyabwe. Kabaka waabwe, aliba wa lulyo lwabwe. Ndimuyita n'ansemberera, kubanga ani gwe siyise, aguma okunsemberera? Baliba bantu bange ne mba Katonda waabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulangira waabwe aliba munnaabwe bo, n'oyo alibafuga aliva mu bo wakati; era ndimusembeza, era alijja we ndi kubanga ani eyali ayaŋŋanze okujja we ndi? bw'ayogera Mukama.