Jeremiah 30:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, omuyaga gwa Mukama gulikuntira mu kiruyi, empewo ey’amaanyi eyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, alikuntira ku mutwe gy'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusungu bwa Mukama ye kibuyaga ow'amaanyi alikuntira ku mitwe gy'ababi. Tebulikoma, okutuusa lwe bulituukiriza ky'ayagala okukola. Mu kiseera ekijja abantu be balikitegeera bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kibuyaga wa Mukama kye kiruyi kye, afulumye, kibuyaga ayera: aligwa ku mutwe gw'ababi.