Jeremiah 30:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zijja, Omukama y'agamba, nzigye mu busibe abantu bange Yisirayeli ne Yuda, mbazze mu nsi gye nawa bajjajjaabwe ebeere yaabwe, Omukama y'ayogera.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndizaawo emikisa gy'abantu bange Isiraeri ne Yuda, era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era eriddamu okuba eyaabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ekiseera kijja kutuuka, nnunule abantu bange aba Yisirayeli, n'aba Buyudaaya. Ndibakomyawo mu nsi yaabwe, gye nawa bajjajjaabwe era eriddamu okuba eyaabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndikyusa nate obusibe bw'abantu bange Isiraeri ne Yuda, bw'ayogera Mukama: era ndibakomyawo mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe, era baligirya.