Jeremiah 30:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwebuuze nno mwetegereze: Omusajja ayinza okuzaala omwana? Lwaki ate ndaba nga buli musajja emikono gimuli ku lubuto ng'omukazi alumwa? Lwaki amaaso gabapeeruuse?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubuuze mulabe. Omusajja alumwa okuzaala? Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanyi ng’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala, buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubuuze nno mulabe; omusajja ayinza okulumwa okuzaala? Lwaki kale ndaba buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina, ng'omukazi alumwa okuzaala? Lwaki amaaso gonna gaperuse?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulowooze, mwebuuze, oba omusajja alumwa okuzaala. Kale lwaki ndaba buli musajja nga yeekutte ku lubuto, ng'omukazi alumwa okuzaala? N'amaaso gakyuse langi yaago!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubuuze nno mulabe oba ng'omusajja alumwa okuzaala: kiki ekindabya buli musajja emikono gye nga gikutte mu mbinabina ng'omukazi alumwa okuzaala, n'amaaso gonna gafuuse ebbala lyago?