Jeremiah 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitalo, olunaku olwo nga luliba lwa kikuuno! Tewali lulirwenkana; luliba budde bwa kabi ku Yakobo; kyokka aliwonyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo! Tewali lulirufaanana. Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo, naye aliwona n’akiyitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Woowe! kubanga olunaku olwo olukulu lujja so tewali lulwenkana; kiriba kiseera Yakobo mw'alirabira ennaku; naye alirokoka mu zo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olukulu lujja, era tewali lulwenkana. Luliba lwa buyinike ku ba Yakobo. Kyokka baliluvvuunuka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Woowe kubanga olunaku olwo lukulu so tewali lulwenkana: kye kiseera Yakobo mw'alabira ennaku; naye alirokoka mu zo.