Jeremiah 30:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku olwo, Omukama w'Amagye y'ayogera, ndikutula ekikoligo ekibali mu bulago, ndikutula enjegere zaabwe; abagwira tebalibafuula baddu nate;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo, ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabwe era ne mbasaleko amasamba, ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo ekiri mu nsingo yaabwe, era ndikutula enjegere ezibasibye; era bannamawanga nga tebakyabafuula baddu nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Olunaku olwo bwe lulituuka, ndimenya ekikoligo ekiri mu bulago bwabwe. Ndikutula enjegere ezibasibye. Tebaliddayo kuba baddu ba bagwira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndimenya ekikoligo kye ku nsingo yo, era ndikutula ebisiba byo; so bannaggwanga nga tebakyamufuula muddu nate: