Jeremiah 31:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu budde obwo,” Omukama y'agamba, “ndibeera Katonda w'ebika byonna ebya Yisirayeli, nabo balibeera bantu bange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne mba Katonda w'ebika byonna ebya Yisirayeli, bo ne baba bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.