Jeremiah 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe amawanga, mukirangirire ku bizinga eby'ewala nti: “Oyo eyasaasaanya Yisirayeli alimukuŋŋaanya, alimukuuma ng'omusumba bw'akuuma eggana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga, mukyogere mu nsi ezeewala. ‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti, ‘Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Muwulire mmwe amawanga ebigambo byange, mubirangirire ku bizinga ebiri ewala, mugambe nti: ‘Mukama eyasaasaanya Abayisirayeli ye alibakuŋŋaanya, era anaabakuumanga ng'omusumba bw'akuuma eggana lye.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisibo kye