Jeremiah 31:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balikomawo ne bayimba n'essanyu ku kasozi ka Siyoni; balijaguliza mu birungi by'Omukama: eŋŋano, evviini ensu, omuzigo, amagana g'endiga n'ente. Baliba ng'ennimiro efukirirwa obulungi: tebaliddayo kuyenjebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni; balisanyukira okugabula kwa Mukama: emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo, n’abaana b’endiga era n’ebisibo. Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi, era tebalyongera kulaba nnaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balijja ne bayimbira waggulu ku ntikko ya Sayuuni, era balisanyukira obulungi bwa Mukama, era ne ŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta, n'abaana b'embuzi n'ab'ente; n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, era tebalibaako buyinike nate n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balijja ne bayimba n'essanyu ku Lusozi Siyooni. Era balisanyukira ebirabo bye mbawa eby'eŋŋaano n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ebirabo eby'embuzi n'ente. Baliba ng'ennimiro efukirirwa amazzi, tebaliba na buyinike n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balijja ne bayimbira ku ntikko ya Sayuuni, era balikulukutira wamu awali obulungi bwa Mukama, awali eŋŋaano n'awali omwenge n'awali amafuta n'awali abaana b'embuzi n'ab'ente: n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, so tebalibaako buyinike nate n'akatono.