Jeremiah 31:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawala embeerera balisanyuka ne bayimba, abavubuka n'abakadde okwo. Okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, ndibakubagiza, mu kifo ky'ennaku yaabwe ndibawaamu okujaguza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abawala balizina beesiime, n’abavubuka, n’abakadde. Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu; ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abawala balisanyuka ne bazina, abalenzi n'abasajja abakadde nabo balisanyuka, kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abawala balisanyuka ne bazina, n'abasajja abavubuka n'abakadde balisanyuka. Ndibakubagiza ne mbasanyusa, ne mbaggya mu buyinike bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuwala lw'alisanyukira amazina, n'abalenzi n'abakadde wamu: kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.