Jeremiah 31:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ndibakkusa n'omwero gw'emmere; n'abantu bange balijjula ebirungi byange,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikkusa bakabona ebintu ebingi, n’abantu bange mbajjuze ebintu,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndinyiya emmeeme za bakabona n'amasavu, n'abantu bange balikkutta n'obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ndibawa ebyassava bingi ne bibanyiwa. Abantu bange ndibajjuza ebirungi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndinyiya amasavu, emmeeme ya bakabona, n'abantu bange balinyiwa obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.