Jeremiah 31:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Eddoboozi lyawulirwa mu Rama: okukaaba n'emiranga egy'okunyolwa, Rakeli ng'akaabira abaana be. Tayagala kukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali n'omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwulirwa mu Laama, nga likungubaga n’okukaaba okungi. Laakeeri akaabira abaana be era agaanye okusirisibwa, kubanga abaana be baweddewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tebakyaliwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali.