Jeremiah 31:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ggya eddoboozi lyo ku kukaaba, n'amaaso go gakaze amaziga, kubanga olifuna empeera y'omulimu gwo,” Omukama y'agamba, “kubanga balidda okuva mu nsi y'omulabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba n’amaaso go galeme okujja amaziga, kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,” bw’ayogera Mukama. Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n'amaaso go galeme okuleeta amaziga; kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lekera wo okwaziirana era weesangule amaziga. Byonna by'okoledde abaana bo biriweerwa empeera. Balikomawo okuva mu nsi y'omulabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n’amaaso go galeme okuleeta amaziga: kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.