Jeremiah 31:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwo okuwulira nawulira emiranga gya Efurayimu: ‘Ommonerezza ng'akayana akalalu, nange ne nzikiriza okubonerezebwa; nkomyawo, nange nzija kudda, kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti, ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu era kaakano nkangavvuddwa. Nziza, n’akomawo gy’oli kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti, ‘Onkangavvudde ne nkangavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkomyawo nange nnazzibwawo, kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mpulira Abayisirayeli abakaaba nga banakuwavu, nti: ‘Twali ng'ensolo etaatendekebwa, naye otuyigirizza okuwulira! Twetegese okudda gy'oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti Onkangavvudde ne nkagavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkyusa ggwe nange naakyusibwa; kubanga ggwe Mukama Katonda wange.