Jeremiah 31:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nawaba, neenenya; bwe nategeera, neenenya. Naswala, ne nswaluka, kubanga naliko ensonyi z'omu buvubuka bwange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga mmaze okubula, neenenya, nga nzizeemu amagezi agategeera ne neekuba mu kifuba. Nakwatibwa ensonyi era ne nswala, kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange, n'akwatibwa ensonyi, weewaawo, n'aswala kubanga n'asitula ekivume eky'omu buto bwange.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twakukuba amabega, naye twenenya mangu. Bwe watubonereza, ne twekuba mu kifuba. Twakwatibwa ensonyi ne tuswala, kubanga twayonoona tukyali bato.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange: nakwatibwa ensonyi, weewaawo, naswala kubanga nasitula ekivume eky'omu buto bwange.