Jeremiah 31:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Abantu abaawona ekitala, basanze omukisa mu ddungu; Yisirayeli alaze mu kiwummulo kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Abantu abawona ekitala baliraba ekisa mu ddungu. Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu abaawona ekitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe yeegomba ekiwummulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ddungu, nakwatirwa ekisa abantu abaawonawo okuttibwa. Abayisirayeli bwe beegomba ekiwummulo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Abantu abafikkawo ku kitala baalaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe nnagenda okumuwummuza