Jeremiah 31:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazzi Efurayimu si mwana wange omwagalwa, omwana ansanyusa? Newandibadde mmunenya ntakera, nkyamujjukira. Omutima gwange gumunnumira; ankwasa ekisaasaazi kingi,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu si mwana wange omwagalwa, omwana gwe nsanyukira? Wadde nga ntera okumunenya naye nkyamujjukira. Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira; nnina ekisa kingi gy’ali,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu mwana wange omwagalwa? Oli mwana ansanyusa? Kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini. N'olwekyo omwoyo gwange kye guvudde gunnuma ku lulwe; Ddala ddala ndimukwatirwa ekisa, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yisirayeli, ggwe mutabani wange omwagalwa, ggwe mwana wange ansanyusa, kubanga buli lwe nkunenyaako nkulumirwa omwoyo ne nkukwatirwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu mwana wange omwagalwa? mwana ansanyusa? kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini: omwoyo gwange kyeguvudde gunnuma ku lulwe; sirirema kumukwatirwa kisa, bw'ayogera Mukama.