Jeremiah 31:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olitangatanga kutuusa wa, ggwe omuwala omujeemu? Laba Omukama akoze ekiggya ku nsi: omukazi alyebungulula omusajja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olituusa ddi okudda eno n’eri, ggwe omuwala atali mwesigwa? Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi, omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ayi ggwe omuwala ateesigibwa? Kubanga Mukama atonze ekintu ekiggya mu nsi; omukazi okukuuma omusajja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulituusa wa okutambula mmwe abantu abateesigibwa? Nga mudda eno n'eri Nze Mukama ntonzeewo ekiggya ku nsi: eky'omukazi okukuuma omusajja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ai ggwe omuwala adda ennyuma? kubanga Mukama atonze ekigambo ekiggya mu nsi, omukazi alyetooloola omusajja.