Jeremiah 31:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Bwe ndibazza okuva mu busibe, baliddamu okwogera ebigambo bino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo nti: “ ‘Omukama akuwe omukisa, ggwe ekisulo ky'obutuukirivu, ggwe olusozi olutukuvu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘ Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, “Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo emikisa gyabwe nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: “Bwe ndikomyawo Abayisirayeli mu nsi yaabwe, mu Buyudaaya ne mu bibuga byayo, baliddamu okugamba nti: ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, olusozi okuli obutukuvu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ne boogera nate ekigambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo obusibe bwabwe, nti Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.