Jeremiah 31:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu balibeera wamu mu Yuda n'ebibuga byayo byonna: abalimi n'abagenda batambula n'amagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula wamu; abalimi n'abo abatambulatambula n'ebisibo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu balibeera mu Buyudaaya, ne mu bibuga byayo byonna. Mulibeeramu abalimi n'abalunzi abalina amagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula omwo wamu; abalimi n'abo abatambula nga balina ebisibo.