Jeremiah 31:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe nabalabirira ku kusimbula, ku kwabya, ku kusuula, okuzikirira n'okuleeta akabi, bwe ntyo bwe ndibalabirira ku kuzimba n'okusimba,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya, okusuula, okuzikiriza era n'okuleeta obubi; bwe ntyo bwe ndibalabirira mu okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe nassaayo omwoyo okubasimbula n'okubamenyaamenya, n'okubasuula n'okubazikiriza, n'okubabonyaabonya, bwe ntyo bwe ndissaayo omwoyo okubasimba, n'okubazimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya n'okusuula n'okuzikiriza n'okubonyaabonya; bwe ntyo bwe ndibalabirira okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.