Jeremiah 31:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu nnaku ezo tebaliddayo kugamba nti: “ ‘Bakitaabwe baalya emizabbibu emibisi, amannyo g'abaana ne ganyenyeera.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti, “ ‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa, n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nga tebakyagamba nti: ‘Abazadde baalya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.