Jeremiah 31:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yayima wala n'andabikira ng'agamba nti: “Nakwagala n'okwagala okw'emirembe gyonna, era nkyakwagala n'okwagala okujjudde ekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti, Weewaawo, Isiraeri nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo; kyenvudde nnyongera okukukwatirwa ekisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nabalabikira nga ndi wala. Mmwe Abayisirayeli, nabaagala n'okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nnyongera okubakwatirwa ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti Weewaawo, nkwagadde n'okwagala okutaliggwaawo: kyenvudde nkuwalula n'ekisa.