Jeremiah 31:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wazira buli muntu alifa lwa kibi kye; aliba alidde emizabbibu emibisi, amannyo gwe galinyenyeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivu bwe ye; buli muntu alya ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli alya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo ge, ge galinyenyeera, era buli muntu alifa lwa bibi bye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivti bwe ye: buli muntu alya ezabbibu ezinyuunyuntula, amannyo ge ge galinyenyeera.