Jeremiah 31:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye eno ye ndagaano gye ndikola n'ennyumba ya Yisirayeli oluvannyuma lw'ennaku ezo,” Omukama y'agamba, “etteeka lyange ŋŋenda kulissa munda mu mmeeme yaabwe, ndiwandiike ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eno y’endagaano gye nnaakola n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era ndigawandiika mu mitima gyabwe; nange n'abanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekiseera bwe kirituuka, eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli: nditeeka amateeka gange mu bo munda, ngawandiike mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, ne baba bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange: