Jeremiah 31:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu talyetaaga kuyigiriza munne, oba buli omu okugamba muganda we nti: ‘Manya Omukama,’ kubanga bagenda kummanya bonna, okuva ku asembayo obuto okutuuka kw'asinga obukulu,” Omukama y'agamba, “kubanga ndibasonyiwa emisango gyabwe, n'ebibi byabwe siriddayo kubijjukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bw’ayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga olwo omuntu takyayigiriza munne, na buli muntu muganda we nga boogera nti, ‘Manya Mukama,’ kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama, kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiriba tekikyetaagisa buli omu kuyigiriza munne okumanya Mukama, kubanga bonna balimmanya, okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu. Ndisonyiwa ebibi byabwe, ne nneerabira ensobi zaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.